Ecclesiastes 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weesiimye, ggwe ensi erina kabaka ow'olulyo olulangira, erina abakungu abalya mu budde obw'okulya, lwa kwezzaamu ndasi naye si lwa ttamiiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira, ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu, olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eyo erina omukisa, omufuzi waayo bw'aba omukulembeze omulungi, era ng'abakungu baayo bakola ebinyumu mu kiseera kyabyo ekituufu, era nga babikola lwa kwewummuzaamu bafune amaanyi, sso si lwa ttamiiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo baliira, mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!