Ecclesiastes 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tovumiriranga kabaka, yadde mu birowoozo byo, tovumiriranga mugagga, yadde eyo mu kisenge kyo; kubanga ebinyonyi eby'omu bbanga byanditwala ebigambo byo, ekirina ebiwaawatiro ky'andiroopa by'oyogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokolimira kabaka mu mutima gwo newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo, kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula, kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toyogeranga bubi ku mufuzi newaakubadde mu kyama, era toyogeranga bubi ku mugagga, wadde ng'oli mu kisenge ky'osulamu, sikulwa ng'ebinyonyi ebibuuka n'ebiwaawaatiro mu bbanga, bitwala eddoboozi lyo, ne byasanguza ky'oyogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.