Ecclesiastes 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusiru bw'atambula mu kkubo tabaamu ka buntu, yeeraga bonna bw'ali omusiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bw’aba ng’atambula, amanyibwa nga talina magezi, era buli amulaba agamba nti musirusiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, weewaawo, omusirusiru ne bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwako, n'agamba buli muntu nga bwali omusirusiru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru ne bw'aba atambula mu kkubo, teyeegendereza; era alaga abantu bw'ali omusiru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru.