Ecclesiastes 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bw'otomanyi mpewo bw'efuuwa, n'engeri omuntu gy'akula mu lubuto, bw'otyo era bw'otomanyi mirimu gya Katonda, eyakola buli kintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna by’akola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bw'otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bw'otoyinza kumanya kkubo mpewo ly'eyitamu, wadde okumanya amagumba bwe gakulira mu nda y'omukazi ali olubuto, era bw'otyo bw'otoyinza kumanya ebyo byonna Katonda by'akola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bw’otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.