Ecclesiastes 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku nkya siga ensigo zo, n'akawungeezi toleka mikono gyo kulagaya, kubanga tomanyi kiriraka, kino oba kiri; obanga byombi birivaamu bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku makya siga ensigo zo, n’akawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo; kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siganga ensigo zo ku makya, era nga n'olweggulo toddirira, kubanga tomanyi oba z'osize ku makya, oba z'osize olweggulo ze ziriba n'omukisa, oba ng'ez'emirundi gyombi ziryenkana okuba ennungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.