Ecclesiastes 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gyonna emyaka omuntu gy'aliba awangadde, kirungi agyeyagaliremu gyonna. Naye kisaanye ajjukire obudde obwa kazigizigi, kubanga nabwo buliba bunene; buli kijja kyonna temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirengamu gyonna, naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza nnyingi ezijja. Ebyo byonna ebijja butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'awangaala emyaka emingi, asaanye agisanyukirengamu gyonna, wabula ajjukire nti ennaku ez'ekizikiza ky'alibeeramu ng'afudde, ziriba nnyingi. Byonna ebijja temuli makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.