Ecclesiastes 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mulenzi, sanyuka mu buto bwo, n'omutima gwo gusanyuse mu nnaku z'obuvubuka bwo. Tambula ng'omutima gwo bwe gukugamba n'amaaso go nga bwe gakulambika; kyokka manya nti Katonda alikulamula olwa bino byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo; tambulira mu makubo g’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go; naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuvubuka, sanyukiranga mu buvubuka bwo, weeyagalenga ng'okyali muvubuka. Kolanga byonna by'oyagala okukola, era weetuusengako ebyo byonna omutima gwo bye gwegomba. Kyokka tegeera nga Katonda alikusalira omusango olw'ebyo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.