Ecclesiastes 12:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira Omutonzi wo mu nnaku z'obuvubuka bwo, ng'ennaku ez'obuyinike tezinnajja, nga n'emyaka teginnatuuka w'oligambira nti: “Tebinsanyusa!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo, ng’ennaku embi tezinnakutuukako n’emyaka nga teginnasembera, mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti, “Sigisanyukira n'akamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale jjukiranga Omutonzi wo ng'okyali muvubuka, ennaku enzibu nga tezinnatuuka, n'emyaka nga teginnatuuka mw'oligambira nti: “Sikyanyumirwa bulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisanyukira n'akamu;