Ecclesiastes 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo by'abagezi biba ng'ekikato, ne bye baayogera ebikuŋŋaanyiziddwa, ebyaweebwa omusumba omu, biri ng'enninga enkomerere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo by'abagezi, biri ng'omuggo omusongovu omusumba gw'agobesa ensolo ze. Ebigambo ebyo, omusumba abigaba ali omu, era bwe bikuŋŋaanyizibwa awamu, biba ng'emisumaali egikomereddwa obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.