Ecclesiastes 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emiryango gy'amakubo lwe giriggalwa, n'eddoboozi ly'olubengo olusa eŋŋano nga ligwekeredde; abantu lwe balizuukuka ku kukaaba kw'ennyonyi, ne bawala b'oluyimba nga basirise;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo, n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde; ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi, naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amatu go, galiba tegakyasobola kuwulira abaleekaanira mu nguudo, wadde okuwulira okusa kw'olubengo era n'amaloboozi g'abantu abayimba, wabula n'akanyonyi akayimba, kalikuzuukusa mu tulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa;