Ecclesiastes 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu lwe balitya obusozi, n'obubenje mu kkubo; emiti gy'endoozi nga gyanyizza, n'enzige nga zibwegedde, n'eppiripiri ng'atulise; olwo omuntu ng'agenda mu nnyumba ye ey'emirembe gyonna, abakungubazi nga beetala mu nguudo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga batya buli kiwanvu n’akabi akali mu nguudo, ng’omubira gumulisizza, ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri. Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu n’abakungubazi ne babuna enguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n'ejjanzi lirizitowa, ne ppirippiri aliggwaawo; kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olitandika okutya okulinnya obusozi, era onookaluubirirwanga okutambula. Ng'omutwe gwo gumaze okutukula envi, onoowuliranga nga n'amagulu gakuzitoowerera okusitula, owalula mawalule, era oliba tokyaliko kye weegomba kulya. Olwo omuntu ng'agenda mu kiwummulo kye eky'olubeerera, era n'amakubo nga galeeta abakungubazi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n’ejjaazi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo: