Ecclesiastes 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ekifundikwa ekya ffeeza tekinnakutulwa, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnayasibwa, n'ensumbi nga tennayatikira mugga, ne nnamuziga nga tennamenyekera ku luzzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika, ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuguwa ogwa ffeeza guliba gukutuse, n'ettaala eya zaabu eriba egudde n'eyatika. Era n'omuguwa ogusibwako ensuwa esena mu luzzi guliba gukutuse, n'ensuwa ng'eyatiseyatise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;