Ecclesiastes 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'oggyeeko eky'okubeera omugezi, Koweleti yayigiriza abantu okumanya; yatetenkanya ng'anoonyereza, n'atereeza engero nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omubuulizi nga bwe yali mugezi, yeeyongera okuyigirizanga abantu ebyo bye yali amanyi. Yawulirizanga nnyo nga boogera engero, n'azeetegereza, n'atereeza nnyingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.