Ecclesiastes 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba mu mutima gwange nti: “Jjangu, nzija kukugeza n'amasanyu, nzuule ekirungi kye gawa.” Ne mu kino temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnayogera mu mutima gwange nti, “Kale nno, naakukeema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu.” Era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalowooza mu mutima gwange nti: “Kale nno ka ngezeeko ebinyumu, nneesanyuse.” Naye ne ndaba nga n'ekyo temuli makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu: era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu.