Ecclesiastes 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na byonna amaaso gange bye geegombanga nga sibigagaana, n'omutima gwange saagumma ssanyu na limu. Omutima gwange gwasanyukira byonna bye nakola, era guno gwe gwali omugabo gwe naggya mu bye nakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma, omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu. Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna, era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga ssaakigamma; ssaaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu kye neegombanga, nakyetuusangako. Siriiko ssanyu na limu lye nagaana kwewa. Nasanyukira byonna bye nakola, era ekyo ne kiba omugabo gwange olwa byonna bye nakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma: saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.