Ecclesiastes 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe nakyukira eri byonna emikono gyange bye gyali gikoze n'okutegana kwe nali nteganyeeemu okubaako kye nkola, byonna temwali kantu, kwali kugoba mpewo buwewo; mpaawo magoba wansi w'enjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola, n’okutegana kwonna nga nkola, laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo, tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo nga biwedde, natunuulira ebyo byonna bye nali nkoze, era n'okutegana kwange kwonna, ne ndaba nga byonna kwali kuteganira bwereere. Ddala kwali nga kugoba mpewo ogikwate. Ate ndaba nga ku nsi kuno tewali kintu na kimu kirina mugaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola: era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.