Ecclesiastes 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne nzira ku kwekkaanya amagezi, obulalulalu n'obutamanya. Anti omuntu alisikira kabaka alikola ki? Si kye baakola edda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi, ne ku ddalu ne ku busirusiru, kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola, okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru; kubanga omuntu addirira kabaka ayinza kukola ki? Ayinza kukola ekyo ekyakolebwa edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nava awo, ne ngeraageranya amagezi n'eddalu n'obusiru, kubanga kabaka talina kipya ky'ayinza kukola ekitaakolebwa dda bakabaka abaamusooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru: kubanga omuntu ayinza ki addirira kabaka? Ayinza ekyo ekyakolebwa edda.