Ecclesiastes 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugezi amaaso ge gali ku mutwe gwe, naye omusiru atambulira mu nzikiza. Nayiga nti byombi enkomerero ye emu ebituukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe, naye atalina magezi atambulira mu kizikiza. Kyokka ne ntegeera nga bombi akabi kabatuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugezigezi amaaso ge gaba ku mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza; era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu ekibatuukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omugezi alaba gy'agenda, naye omusiru atambulira mu kizikiza. Wabula era mmanyi ng'enkomerero yaabwe ye emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugezigezi amaaso ge gaba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza: era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu kibatuukako.