Ecclesiastes 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omugezi okufaanana n'omusiru talijjukirwa emirembe gyonna; manyanga gye bulijja bombi nga beerabirwa dda. Omusiru afa, n'omugezi afa kyenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera; mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda. Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru bwatyo tajjukirwa emirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna biriba nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugezi tajjukirwa, era ng'omusiru bw'atajjukirwa mirembe gyonna, kubanga byonna ebiriwo kati biryerabirwa mu biseera ebigenda okujja, era buli muntu alifa, k'abe mugezi oba musiru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru tajjukirwa mirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru!