Ecclesiastes 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulamu kyennava mbukyawa, kubanga ebikolebwa wansi w'enjuba ndaba bibi. Byonna temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama; kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyankyayisa obulamu, kubanga byonna ebikolebwa ku nsi byantama. Byonna tebiriimu mugaso, era biri nga kugoba mpewo ogikwate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama: kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.