Ecclesiastes 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakyawa okutegana kwange kwe nateganamu wansi w'enjuba kubanga nalaba nga ndibirekera oyo alinziririra.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba, kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nkyawa byonna bye nali nkoze ku nsi, kubanga ndi wa kubirekera oyo alinziririra.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra.