Ecclesiastes 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi oba aliba mugezi oba musiru? Oyo y'alifuga emirimu gyange gyonna egyanteganya wansi w'enjuba kwe namalira amagezi gange. Na kino temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru? Naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, era kwe nnayolesezaamu amagezi gange wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ani amanyi oba ng'oyo aliba mugezi oba aliba musiru? Kyokka oyo ye alyefuga byonna bye nakola ku nsi, era bye nayolesezaamu amagezi gange. Era n'ekyo tekiriimu mugaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru, naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, ere kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu.