Ecclesiastes 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omutima gwange ne guterebuka mu bye nali nteganyeemu wansi w'enjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye nnava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo natuuka n'okwejjusa nti: “Natawaanira ki bwe ntyo ku nsi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba.