Ecclesiastes 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omuntu ategana n'akola n'amagezi, n'okumanya n'obukugu, naye omugabo gwe n'agulekera omulala ataabikolerera; na kino nakyo temuli kantu, kya nnaku nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga omuntu ayinza okukola emirimu n'amagezi n'obukugu era n'obwegendereza, kyokka byonna by'akoze n'abirekera muntu mulala atabiteganidde. Ekyo nakyo tekiriimu mugaso, era kibi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene.