Ecclesiastes 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwonna nnaku nsa, n'emirimu gye kusobezebwa kwereere; n'ekiro kyonna omutima gwe teguwummula; na kino nakyo temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ekiseera kyonna eky'obulamu bwe akimala mu buyinike bwereere, na mu kweraliikirira, n'atawummula emisana n'ekiro. N'ekyo nakyo tekiriimu mugaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.