Ecclesiastes 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teri kirungi omuntu kye yandikoze kyandisinze kulya, kunywa n'okusanyukira mu kutegana kwe. Ndaba na kino kiva mu mikono gya Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi ebiva mu kutegana kwe. Era n'ekyo nnakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisinga okugasa omuntu kwe kulya n'okunywa n'okwesanyusiza mu ebyo by'akoleredde. Era n'ekyo nalaba ng'okusobola okukikola, guba mukisa Katonda gw'awa omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda.