Ecclesiastes 2:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omulungi mu maaso ga Katonda, amuwa amagezi, okumanya, n'essanyu, naye omwonoonyi amuwa mugugu gwa kukuŋŋaanya na kutuuma alyoke awe oli eyasanyusa Katonda. Na kino temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu asanyusa Katonda; Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu; naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda, abamusanyusa abawa amagezi n'okutegeera era n'essanyu, kyokka aboonoonyi abawa gwa kukuŋŋaanya na kutereka bugagga, babuwe abo abamusanyusa. Era n'ekyo tekiriimu mugaso, kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu: naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.