Ecclesiastes 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalowooza ku ky'okusanyusa obulamu bwange n'omwenge, ne ku ky'okuwambaatira obutamanya, gwo omutima gwange nga gukyankulembera n'amagezi. Nayagala ndabe kiki ekigasa abaana b'abantu okukola wansi w'enjuba mu nnaku entono ez'obulamu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, era omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, okulaba bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu kunoonya amagezi, aganaaluŋŋamya omutima gwange, nalowooza ku ky'okwesanyusa nga nnywa omwenge, mmalirewo ebiseera byange, nga ndowooza nti oboolyawo ekyo abantu kye bagwanira okukola ku nsi ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, era bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.