Ecclesiastes 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era neekuŋŋaanyiza ffeeza, zaabu n'obugagga bwa bakabaka n'abaamasaza; nafuna abayimbi abasajja n'abakazi, na buli kisanyusa omutima gw'omuntu, anti gwe mwandu gw'abakazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nneekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza; nneefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, n'abazaana bangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nakuŋŋaanya ffeeza ne zaabu n'ebyobugagga ebirala bingi okuva mu matwale ge nfuga, era neeteekerawo abasajja n'abakazi abaakolanga ogw'okunnyimbira ennyimba, era nalina byonna ebiyinza okusanyusa omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi nnyo.