Ecclesiastes 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola bulungi ebintu byonna nga bituukana n'obudde bwabyo; yassa mu mutima gw'omuntu okutegeera obudde obutaliiko kkomo, naye era abantu tebasobola kwefumiitiriza ne bakomekkereza omulimu Katonda gwe yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo; era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakola buli kintu, nga kigya bulungi mu kiseera kyakyo. Abantu yabateekamu omutima ogwagala okumanya ebyaliwo, n'ebiriwo, n'ebiribaawo, kyokka n'atabawa kumanya ye Katonda by'akola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.