Ecclesiastes 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti buli muntu yandiridde, n'anywa n'amatira ebirungi ebiva mu kutegana kwe; kino kitone kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omuntu okulya n'okunywa n'okusanyukira mu birungi by'ateganidde, kiba kirabo kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.