Ecclesiastes 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nayiga nti byonna Katonda bye yakola bisigalawo emirembe gyonna; tewali kya kwongerako, yadde eky'okumogolako; Katonda ye yabikola balyoke bamusseemu ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako; era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nga buli kintu Katonda ky'akola, kibeerawo ennaku zonna, era tewali kiyinza kukyongerwako, wadde okukikendeezebwako. Katonda yakola bw'atyo, abantu balyoke bamussengamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge.