Ecclesiastes 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiriwo kyaliwo dda, ate ekiribeerawo kyabaawo dda; Katonda azzaawo ekyayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo; n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda; era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiriwo byali bibaddewo, era n'ebiribaawo byali bibaddewo edda. Katonda alagira ebyali bibaddewo ne biddamu okubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo.