Ecclesiastes 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nayongera okulaba wansi w'enjuba: mu kifo ky'obutuufu waaliwo bugwenyufu, mu kifo ky'obutuukirivu waaliwo bugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era nalaba nga wansi w’enjuba, mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza; ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate nnalaba wansi w'enjuba nga obubi buli mu kifo eky'okusaliramu emisango; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nalaba nga ku nsi awandibadde amazima n'obwenkanya, wabeerawo bikolwa bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate nalaba wansi w'enjuba mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubi bwali eyo; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo.