Ecclesiastes 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba mu mutima gwange nti: “Omutuukirivu n'omubi Katonda alibalamula, kubanga buli kintu kirina obudde, na buli kikolebwa kirina ebbanga lyakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne njogera munda yange nti, “Katonda aliramula abatuukirivu n’aboonoonyi; kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu; era na buli mulimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'egy'omubi, kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda alisalira abalungi n'ababi omusango, kubanga buli kintu na buli kikolwa kiba n'ekiseera kyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna.