Ecclesiastes 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nagamba mu mutima gwange ku baana b'abantu nti: “Katonda ageza abantu abalage nti bafaanagana n'ebisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda ageza abantu, alyoke abalage nti nabo bennyini bali ng'ebisolo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo.