Ecclesiastes 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ebigwira abaana b'abantu n'ebigwira ebisolo bye bimu; ng'ekimu bwe kifa, n'ekirala bwe kifa; byonna omwoyo gwe gumu: omuntu talina ky'asinza ku bisolo. Byonna temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ne ku nsolo; ekigambo kimu ekibatuukako; ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo; kubanga byonna butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ekituuka ku bantu kye kimu ekyo era ekituuka ku bisolo. Ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'atyo bw'afa, era omukka omuntu gw'assa, n'ensolo gw'essa, ne kiraga nti omuntu talina nkizo ku nsolo, era obulamu bw'omuntu n'obw'ensolo tebuliimu makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng'eyo bw'efa, n'oyo bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu.