Ecclesiastes 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakitegeera nti tewali kirungi kisinga muntu kusanyukira mu ky'akoze; kubanga ekyo gwe mugabo gwe, kubanga ani alimuleeta okulaba ebiribaawo ye ng'avuddewo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, neetegerezza ne ndaba ng'ekisinga obulungi, omuntu kwe kusanyukira mu ebyo by'akoze, kubanga eyo ye mpeera ye, kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo, ye ng'amaze okuvaawo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe?