Ecclesiastes 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakyuka ne ndaba okunyigiriza okukolebwa wansi w'enjuba; amaziga g'abanyigiriziddwa, nga mpaawo akubagiza; eryanyi liri n'abanyigiriza, tewali akubagiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba. Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa, era nga tebalina wakugabasangulako! Ababanyigiriza baalina obuyinza, kyokka nga tewali asobola kubagambako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba; era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, era nga abajoogebwa tebalina abasanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nava ku ebyo, ne ndowooza ku butali bwenkanya obuli mu nsi. Abanyigirizibwa bakaaba amaziga, ne batafuna abayamba. Tebafuna abayamba, kubanga abo ababanyigiriza be bali mu buyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba: era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa.