Ecclesiastes 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu bw'aba agudde, omulala amusitulawo. Ali obw'omu alabye. Bw'agwa, tewaba amusitulawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne; naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bagwa, omu ayamba munne okuyimuka. Naye omuntu bw'aba yekka, n'agwa, ziba zimusanze, kubanga tewaba amuyamba kuyimuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne: naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.