Ecclesiastes 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era, ababiri bwe beebaka awamu, omu abugumya munne. Ali omu abuguma atya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma; naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu budde obw'empewo, ababiri bwe beebaka awamu mu buliri, babuguma; naye omu yekka ayinza atya okubuguma!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?