Ecclesiastes 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu yandikina kw'ali obw'omu, naye abali ababiri bandimulwanyisa. Omuguwa ogw'emiko esatu tegumala gakutulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era newakubadde omuntu asobola okusinga oyo ali yekka, naye ababiri be bamusobola. Omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ababiri basobola okulwanyisa omulabe eyandiwangudde omuntu omu ng'alwana yekka, n'omuguwa ogw'emiyondo esatu si mwangu kukutula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n'omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.