Ecclesiastes 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi omwavu, omugezi asinga kabaka omukadde ate nga musiru, atakyawuliriza kulabulibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyagala kubuulirirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuvubuka omwavu naye nga mugezi, asinga kabaka omukadde atalina magezi era atakyayagala kubuulirirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyamanyi kubuulirirwa.