Ecclesiastes 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omulenzi ne bw'aba yava mu kkomera okujja ku nnamulondo, obanga yazaalibwa musabirizi mu bwakabaka bwe obwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga yava mu kkomera okuba kabaka; weewaawo, oba mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ayinza okuzaalibwa mu nsi ye nga mwavu oba okuva mu kkomera, n'afuuka kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu kkomera mwe yava okuba kabaka; weewaawo, ne mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.