Ecclesiastes 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwendo gw'abantu bonna gwali tegukoma, ogw'abo bonna abaabakulemberamu. Naye abaddawo oluvannyuma tebaamusanyukira. Na kino temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira. Abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ayinza okuba n'abantu abangi b'afuga, naye bw'akisa omukono, tewali ajjukira birungi bye yakola. Kino nakyo tekiriimu makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira: naye abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.