Ecclesiastes 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo omusajja ng'ali bwannamunigina, talina mwana yadde muganda we. Yali tata kutegana, naye amaaso ge nga tegakkuta bya bugagga bye. Awo nno ntawaanira ani? Lwaki neesubya ebirungi? Ne mu kino nakyo temuli kantu, kutegana okukwasa ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina, nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe, ne yeebuuza nti, “Nteganira ani ne neefiiriza essanyu? Kino nakyo butaliimu, era tekiriiko kye kigasa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabaawo omuntu ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda, naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. “Kale nteganira ani,” bw'ayogera, “ne nnyima emmeeme yange ebirungi?” Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kwe kweraliikirira okungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabaawo omuntu abeera yekka nga talina mwana wadde owooluganda, sso ng'akola obutaweera, era nga tamatira na bugagga bw'alina. Kale mba nteganira ani okwenkana awo, ne nemma okusanyukako? Kino nakyo tekiriimu makulu, era kwerumya bwerumya!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabaawo ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. Kale nteganira ani, bw'ayogera, ne nnyima emmeeme yange ebirungi? Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kweraliikirira kungi.