Ecclesiastes 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awali ebintu ebingi, n'ababirya baba bangi; olwo nnannyini byo bimugasa ki, mpozzi okubitunulako obutunuzi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba: na kino nakyo butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba g'abwo taabikutenga: era n'ekyo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ayagala ensimbi tayinza kuzikkuta, era n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba gaamu, taabikkutenga. Era n'ekyo tekiriimu makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n'ekyo butaliimu.