Ecclesiastes 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otulo tw'omukozi tuwooma, ne bw'alya akatono ne bw'alya ekingi; naye omwero gw'omugagga tegumuganya kwebaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu nga bwe byeyongera obungi, n’ababirya gye bakoma okweyongera. Kale nnyini byo agasibwa ki, okuggyako okusanyusa amaaso ge?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera; kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu bwe byeyongera okwala, n'abo ababirya beeyongera okuba abangi. Kale bannyini byo bafunamu magoba ki, okuggyako okubirabako obulabi n'amaaso!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge?