Ecclesiastes 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwazikirira olw'entaanya emu; ate yalina omwana omu, naye teyalina kantu mu mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba: nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ate ne yeerumya yekka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo ekintu ekibi ennyo kye ndabye ekibeerawo mu nsi: bwe bugagga obuterekebwa nnyini bwo mu kwerumya okungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ne yeerumya yekka: