Ecclesiastes 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwereere nga bwe yafuluma mu lubuto lwa nnyina, era omuntu bw'aligenda. Talina ky'alitwala ku bye yateganira ky'aliyinza kugenda nakyo mu ngalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula, kale bw’aba ne mutabani tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, n'aba nga takyalina kintu mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyokka obugagga obwo ne buzikirira olw'ebizibu ebitaalengererwawo, n'azaala omwana nga tewakyali ky'alinawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, nga temuli kintu mu mukono gwe.